KAKENSA MEDIA
  • HOME
    • NEWS >
      • LOCAL
      • FOREIGN
  • ENTERTAINEWS
  • GOSSIP
  • WOLOXO
    • GALLERY
  • DIASPORA
    • FACEBOOK.COM/KAKENSA
  • MARKET
  • CONTACT
  • Pictorial

Abadde akozesa banne obwa malaya mu Malaysia ali mu nkomyo

11/1/2014

3 Comments

 
Picture
Nga wakayita enaku mbale bukya muyimbi Queen Florence akwatibwa mu bwa malaaya ate getufunye nti ne kabatunda akwatiddwa.
Omuwala ono omubalagavu Shakira abadde amanyiddwa nnyo mu Kampala buli lwadda mu kuyiwayiwa ssente era alina amayumba agawerako mu Kampala ne ndala galikwoleka esangibwa e Bukoto, abadde atwala abawala abato e Malaysia nga abalimbye nti agenda kubafunira emirimu naye nabateeka mu bwa malaya. Shakira (erinya lye eddala terimanyikise) abawala bano abadde abajjako passport zaabwe nga bakatuuka era nabasalira katala ya kuleeta $100 buli omu buli kiro. Nga nebwebabeera munsonga asigala ababanja. Kigambibwa nti bwezikulema obadde okubwa embooko ezigwanidde mu $100. Ku lwokutaano oluwedde,abawala kkumi na babiri bafulumye munju ye nga bulijjo nebagenda okukola naye omu teyakomyeewo. Banne bwebakomyewo nebategeeza mukama wabwe nti poliisi eyodde munabwe. Bino Shakira olwabitegedde yayambaliddewo nakwata emu ku passport y´omu ku bawala abapya abadde yakajja nga visa ye ekyali valid nagenda okutaasa oli gwebakutte naye nga akafananyi tekafanagana. Kyatategedde, nti oli omuwala gweyalowozezza nti babadde bamukutte,yabadde yewaddeyo bwewi ku immigrations nga akooye okutulugumyizibwa ayagala kudda Uganda. Bweyatuuse ku Police,yeyanjudde nga muganda w´omusibe era nabalaga passport ye(eri jenakugambye) nti ne visa ye ekyaliko. Omuwala yavuddeyo n´amwegaana era ne passport n´ajegaana.Yagasseeko n´okubulira aba immigrations poliisi nti ne Shakira talina Visa mbu era naye akozesa passport etali yiye ekyabadde ekituufu. Wano poliisi yakutte Shakira n´emugatta ku munne mu kadukulu. 
Abawala abalala e kkumi noomu ababadde basigadde awaka bwebawulidde nti mukama wabwe bamugalidde bonna nebeyiwa ku poliisi bamuweeko obujulizi kubanga abadde abaliisa akakanja. Era bonna poliisi yabakutte nebaggalira nga ebavunaana okubeera mu nsi nga tebalina biwandiko n´okukola obwamalaya. Bagenda kulabika mu kooti omulundi ogusooka ku mande eno nga 13 January 2014

Mubifananyi waggulu ye Shakira
3 Comments
Joseph kiggundu link
11/1/2014 08:21:35 pm

Talk smart at all!!kimugwanide

Reply
damba Geoffrey
12/1/2014 03:48:06 pm

good work

Reply
Moses kigozi
31/1/2014 09:28:53 am

Bino ntekwa okumanya gyebyagweela!

Reply



Leave a Reply.

    UP Coming
    Events

    BOOK THIS FOR YOUR
    EVENT NOW FREELY

    Picture
    Dr Paul Semugooma faces deportation
    Picture
    Picture
    Picture
    Fiona Mukasa speaks out about her broken marriage
    Picture
    Ghanaian farmers to demonstrate over Ugandan appointment
    Picture
    Ugandan woman dies on BA Flight
    Picture
    UK based woman drags Sematimba to court for fraud
    Picture
    Details unfolds on how Sematimba fraudulently took over Muyenga Club
    Picture
    Ugandan woman dies in Malaysian prison
    Picture
    Picture
    Picture
    Ugandan Girl Power brightens up Swedish valentinesday
    Picture
    Picture
    Ugandan tradional healer charged in Zambia
    Picture
    Picture
    Picture
    Picture
    Picture

    RSS Feed

Powered by Create your own unique website with customizable templates.