
Oyinza okwebuuza nti emyaka ne fashion bikwata-ganira wa? Naye waliwo ebintu omuntu byasanidde okwambala okutu-nkana nemyaka je. Omuntu bwaya-mbala, ng´ojjeko okubikka ku bwerere bwe, waliwo ebintu ebiwerako ebitwe-tagisa okwetegereza kiki kyetwambala ne wa wetukyambalira. Waliwo engoye nga zo newankubadde olina figa empitirivu obulungi olina bubeezi kuzesonyiwa olwemyaka. Newabaawo endala nga yadde ziwomera ku bantu abalala naye gwe newesanga nga zikuboola.